Amatikkira g’Omukama Oyo aga 28 gabadde mu Lubiri lwe Karuziika.
Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV yatandika okukulembera Obukama bwa Tooro mwaka gwa 1995.
Omukama alabudde abo bonna abefunyiridde okugobaganya abantu okuva ku ttaka nti basaanidde okukikomya era naalagira ekitongole kyeby’e ttaka mu Bukama okukuba ebyapa ku Ttaka ly’obukama lyonna kiyambe okulinunula ku basaatuusi naddala abali mu kumalawo ebifo by’ebyobulambuzi.
Omuhiikirwa wa Tooro Owekitinisa Steven Kiyinji Amooti, ategeezezza nti Obukama butadde essira ku kukuuma obutondebwensi, naddala nga basimba emiti ginnaansangwa.
Obwakabaka bwa Buganda bukiikiriddwa Owek Ahmed Lwasa, nga ye mumyuuka w’omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda, ne minister ow’ekikula kya bantu mubwakabaka Owek Cotilda Nakate.
Omumyuka wa sipiika wa parliament Thomas Tayebwa yebazizza obukama olwokukuuma ennono, eyamba okukuumira abantu mu mpisa entuufu.#