Olunaku lwa sunday ey’okusatu mwezi gwa Museenene (November) buli mwaka, lwassibwawo ekibiina ky’amawanga amagatte mu nsi yonna lubeerenga olw’okwefumiitiriza ku bubenje bw’okunguudo, okukuba tooci mu mbeera abantu abagudde ku bubenje gyebayitamu n’abomumaka gaabwe.
Olw’omwaka guno lubadde ku kitebe kya ministry y’ebyenguudo mu Kampala, nga lwetabiddwako abantu abenjawulo abakwatibwako ensonga omuli abakulu mu ministry, ba ddereeva, n’abamu ku bantu abaakosebwa obubenje.
Minister w’ebyemirimu n’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala agambye nti nga gavumenti baliko enkola nnyingi zebabaze ezigenderera okumalawo obubenje mu ggwanga, omwaka gwa 2030 wegunaatukira.
Obutaba na bugumiikiriza, obukoowu n’okuvugisa ekimama byebisinze okunokolwayo nti byebisinze okuvaako obubenje bw’okunguudo mu Uganda.
Okusinziira ku alipoota ya poliisi abantu 10 bebafa olw’obubenje bw’okunguudo n’abalala nebasigala n’ebisago eby’amaanyi omuli n’okukutukako ebimu ku bitundu by’emibiri.
Etteeka ly’ebyenguudo akawaayiro namba 120, singa ddereeva yenna asingisibwa omusango gw’okuvugisa ekimama asasula engassi ya sente eziri wakati wa 16 -60,ze shs nga emitwalo 300,000/- okutuuka ku 1,200,000/-. oba okusibwa mu nkomyo emyezi mukaaga okutuuka ku myaka ebiri oba byombi.
Wabula abamu ku beetabye ku mikolo gy’olunaku luno bagamba nti zikyali ntono zetaaga zongerweko ziwalirize ba ddereeva okukendeeza ku ndiima. Poliisi y’ebidduka etera okussibwa ku nguudo naddala mwasa njala okukwasisa amateeka agakugira abavuga endiima n’abavugisa ekimama, wabula ebiseera ebimu ba ddereeva babalabiriza mu bifo awatali basirikale olwo nebalyoka bawenyuuka.
Era poliisi ekirambika lunye nti endiima ye kanaluzaala w’obubenje obusinga ku nguudo naddala mwasa njala, nga wakiri emmotoka entono eza buyonjo tezandisusse misinde 100km buli ssaawa(100km per hour), ate ezisaabaza abantu abangi tezaandisusse 80km buli ssaawa, ate ennene ezisaabaza ebyamaguzi nazo tezandisusse 80km,naye ba ddereeva abasinga tebabigoberera.
Alipoota ya poliisi 2020 yalaga nti abantu 3,633 bebafiira mu bubenje bw’okunguudo,so nga ate december w’omwaka ogwo kyayitirira kubanga buli lunaku abantu 12 bebabufiiramu bwogerageranya ne n’enteebereza ye myezi emirala ey’abantu 10 abafiira mu bubenje bw’okunguudo buli lunaku.