Omukutu gwébyempuliziganya ogwa MTN Uganda gulangiridde nti gwongedde okukola ensimbi mu buweereza obwenjawulo, ekigusobozesezza okwongera ku bungi bwa ba kaasitoma baayo.
Okusinziira ku bivudde mu alipoota yÓmwaka 2023, eraze nti abakozesa enkola ya MTN Momo pay beyongedde okungi, okuva ku bantu emitwalo 73,000 mu mwaka 2022,okutuuka ku bantu emitwalo 292,000 mu 2023.
Ensimbi eziyingizibwa okuyita mu nkola ya MTN MoMo nazo zirinnye okuva ku shilling trillion 1.1 okudda ku trillion 2.2.
Alipoota era eraze nti enkozesa ya data ku ssimu n’enkozesa y’omutimbagano yeyongedde okulinnya, olw’essimu sseereza ezeyongedde mu ggwanga, nga data yavuddemu omusolo gwa buwumbi bwa shilling 621 omwaka oguwedde 2023.
Richard Yego nga yaakulira enkola ya MTN Momo pay , ategeezezza nti omuwendo gwabantu abeyunze ku MTN oguweza ebitundu 13.3% gukoze kinene ku nyingiza ya MTN néri emisolo gya government.
Ssenkulu wa MTN Uganda Sylvia Mulenga, ategeezezza nti obuwanguzii obutuukiddwako buvudde mu mpeereza ennungi MTN gyetuusa ku bantu, era neyeeyama okwongera okuweereza bannansi obulungi.
Bisakiddwa: Kato Denis