Paapa Francis alonze Msgr Lawrence Mukasa abadde Vicar General w’essaza ly’e klezia erya Kiyinda Mityana Diocese okufuuka omusumba omuggya ow’essaza lya Kasana Luweero.
Msgr Lawrence Mukasa adda mu bigere bya ssaabasumba wa Kampala Paul Ssemogerere eyali omusumba we Kasana Luweero.
Essaza lino libadde limaze ebbanga lya myaka 2 nga teririna musumba mujjuvu.
Omubaka wa paapa mu Uganda Ssaabasumba Luigi Bianco yayanjudde obubaka buno eri ssentebe w’abepisikoopi mu Uganda Bishop Joseph Anthony Zziwa.
Oluvannyuma obubaka buno bulangiriddwa Bishop Zziwa eri abakristu, mu missa y’okukuza olunaku lw’abavubuka mu ssaza lya Kiyinda Mityana oluyindira ku lutikko ya Noa Mawaggali mu Kiyinda.
Msgr. Lawrence Mukasa yazaalibwa nga 14 March,1957 e Nabwiri mu ssaza lya Kiyinda Mityana.
Yasomera ku minor seminary e Kisubi, gyeyava nagenda ku Saint Thomas Aquinas National Major Seminary Katigondo mu ssaza lye Masaka gyeyakuguka mu masomo ga Phyilosophy.
Bweyava e Katigondo yegatta ku Saint Mary’s National Major Seminary e Ggaba mu Kampala Archdiocese gyeyakugukira mu ssomo lya Theology..
Msgr Lawrence Mukasa yatuuka ku kkula ly’obusasolodooti nga 24 June, 1984 n’atandika obuweereza mu ssaza lya Kiyinda Mityana.
Yabutandikira mu kigo kye Bukalagi mu 1984.
Mu 1985 – 1986 yali mu kigo kye Naluggi.
Okuva mu 1986 – 1990 yali mu Saint Thomas Aquinas National Major Seminary e Katigondo.
Mu 1990 yeyongerayo okusoma okutuuka mu 1992 n’akuguka mu byafaayo by’eklezia ng’asomera mu Pontifical Gregorian University e Rome.
Bweyakomawo kuno oluvannyuma lw’emisomogye yaddayo okusomesa ku Saint Thomas Aquinas National Major Seminary Katigondo ng’atuuse ku ddaala lya Professor, era yeyali akulira eby’okulyowa emyoyo mu seminary eyo wakati wa 1992 – 1997.
Mu 1997 yafuulibwa Bwanamukulu w’ekigo kye Bukalagi okutuuka mu 2001.
Bweyava eyo yaweerezebwa okusomesa mu Saint Mbaaga’s Major Seminary mu archdiocese ye Kampala wakati wa 2001-2005.
Okuva mu 2005 yafuulibwa vicar general w’essaza lya Kiyinda Mityana, era y’abadde akulira abasasolodooti bonna mu ssaza okuva mu 2018 okutuusa Paapa Francis lwamulonze okufuuka Bishop wa Kasana Luweero, ng’adda mu bigere bya Bishop Paul Ssemogerere eyafuuka Ssabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala.
Bisakiddwa: James Kaana Ssebuguzi