Omuzannyi wa ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes, Moses Waisswa, akubye ekyukira n’addayo mu club ya Vipers eya Uganda Premier League avudde mu club ya KCCA.
Moses Waisswa atadde omukono kundagano ya myaka 2 ne Vipers eyakawangula ebikopo liigi 6.
Moses Waisswa abadde yegatta ku club ya KCCA kuntandikwa ya season 2022/2023, kyokka oluvanyuma lwa round esooka eya Uganda Premier League 2023/24, abakulu mu KCCA bamusabye anoonye ekibanja ewalala, wadde ng’endagaano ye ne KCCA yabadde esigaddeko emyezi 6.
Mu club ya Vipers ezeeyo mulundi gwakubiri, nga yasooka nazannyira club eno okutuuka mu 2018, gye yava n’agenda mu club ya Super Sport United eya South Africa.
Mu club ya Super Sport United yazannya emipiira 15 gyokka, kyokka mu kiseera weyabeerera mu club ya Vipers, yagiyamba okuwangula ekikopo kya liigi mu season ya 2017/18 ate era yalondebwa nga omuzannyi eulyasinga okucanga endiba mu Uganda mu 2018.
Mu kiseera kino club za Uganda Premier League ziri mu kwetegekera oluzannya olw’okuddingana, era Vipers yamazeeko oluzannya olusooka nga yakubiri n’obubonero 30, BUL ekulembedde ebasingako obubonero 3 bwokka.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe