Omuzannyi w’omupiira munnauganda Moses Sseruyidde, mu butongole yegasse ku club ya Police egucangira mu liigi ya babinywera eya Rwanda.
Moses Sseruyidde abadde amaze ekiseera nga atendekebwa ne club eno mu kwetegekera season ejja eya 2023/24.
Moses Sseruyidde agenda kwambala omujoozi number 5 mu club eno.
Abadde talina club oluvanyuma lw’endagaano ye okugwako ne club ya Kitara eya Uganda, kunkomerero ya season ewedde.
Sseruyidde yabadde musaale season ewedde mu kuyambako club ya Kitara okusuumusibwa okuva mu liigi y’ekibinja eky’okubiri eya FUFA Big League okuzannya mu Uganda Premier League season ejja.
Azannyiddeko club endala okuli URA, Kira United ne Kajjansi Boys.
Club gy’agenzemu eya Police season ewedde yamalira mu kifo kya 5, ng’okuva lwe yatandikibwawo mu 2000 yakawangula ekikopo kimu ekya Rwanda Peace Cup.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe