Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA, kikakasiza Morley Byekwaso ku butendesi bwa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eyabazannyi abatasussa myaka 18 egenda okukiikirira Uganda mu mpaka za CECAFA U18 Championship ez’omwaka guno.
Morley Byekwaso agenze okulondebwa ku mulimu guno nga yakamala okutendeka ttiimu ya Uganda Cranes ku ndagaano ya mwezi gumu eyagwako nga 31 October,2023.
Ku mulimu guno Morley Byekwaso agenda kumyukibwa eyaliko emunyenye ya Uganda Cranes era omutendesi wa ttiimu y’essaza Ssese Abubaker Tabula.
Stephen Kiggundu ye mutendesi w’abakwasi ba goolo, Noah Kasule Bbabaddi wa dduyiro n’abalala.
Mu mbeera yeemu ttiimu yabazannyi 32 yeyitiddwa okwetegekera empaka zino ezigenda okubeerawo okuva nga 25 November,2023 okutuuka nga 9 December, 2023.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe