Ekimmotoka kika kya ‘box body’ kiremeredde omugoba wakyo ku luguudo oluva e Masanafu okwolekera ekibuga Kampala ne kinyiganyiga emmotoka satu.
Akabenje kano kagudde mu katundu akamanyiddwa nga Wakasanke ,ng’emmotoka ezitomeddwa kubaddeko eya taxi etategeerekese namba , eya buyonjo UBF 202Y Saako UAT 868 N zononese nnyo, naye tewari muntu afiiridde mu kabenje Kano.
Police esanze akaseera akazibu okutaayiza abavubuka ababadde bagala okusika ebyuma mu mmotoka ezifunye akabenje.
Aberabiddeko ng’akabenje kagwawo bekokkodde KCCA ne UNRA olw’okulwawo okugaziya oluguudo luno, nti so nga luyisa emmotoka nnyingi.
Bagamba nti oluguudo luno olw’e Masanafu oluva e Kampala okugatta ku Northernbypass luyitako emmotoka nnyingi, kyokka lufunda,lurimu ebinnya,kwotadde n’emyala emiwanvu egitambuza amazzi eruddq n’erudda.
Bagamba nti luyisa emmotoka ezidda e Mityana ne Masaka, emmotoka ennene n’entono olw’omugotteko gw’ebidduka ogutakyava ku luguudo oluyita e Nateete okudda e Busega.
Bannyonyodde nti oluguudo luno lufunda nnyo, nti naye luyisa emmotoka ennene okuli bus, loole n’ebimmotoka ebitambuza amafuta, ekiteeka mu matigga obulamu bw’abantu abalala abalukozesa.