Emmotoka ya taxi eremeredde omugoba ku luguudo oluva e Namirembe okudda e Nabulagala mu gombolola ye Lubaga mu Kampala taxi bweganye okusiba n’esaabala abantu 4 omu emuttiddewo.
Akabenje kano kaguddewo mu kiro.
Aberabiddeko bagamba nti taxi ewanuse ku kanisa e Namirembe ng’ekuba engombe, ekiddiridde kutomera mmotoka ndala n’abantu ababadde emabbali g’emmotoka.
Police omulambo eguggyeyo n’abakoseddwa neebaddusa mu ddwaliro.#