Nalulungi wa Czech Republic Krystyna Pyszkova awangudde engule y’obwanalulungi bw’ensi yonna ey’omulundi ogwe 71, ey’omwaka 2024.
Yasmina Zaytoun owe Lebanon yakutte ekifo eky’okubiri.
Empaka za Nnaalulungi w’ensi yonna ziyindidde mu kibuga Mumbai ekya India mu Jio World Convention Centre.
Munnauganda Hannah Karema asinze ku bannalulungi abaavudde ku lukalu lwa Africa, amalidde mu bannalulungi 8 abasinze, ku bannalulungi 120 ababadde bavuganya mu mpaka zino.
Bannalulungi 8 abasinze ye wa Czech Republic,England,India,Uganda,Botswana, Brazil, Lebanon ne Trinidad and Tobago.#