Ministry y’eby’obulamu mu Uganda eyongedde amaanyi mu nteekateeka y’okusomesa abazaalisa n’abantu ba bulijjo okuyambako abakyala abaakazaala obutavaamu musaayi mungi, n’okukubiriza abakyala okwongera okuyoonsa abaana nga bakazaalibwa.
Enteekateeka eno ey’omuggundu egenda kumala ennaku 10 okwetoloola Uganda yonna.
Abeby’obulamu bagamba eky’abakyala okuvaamu omusaayi omungi nga bazaala nebatafuna kuyambibwa kumala kye kimu ku bisinga okubatta nga bali mu ssanya.
Mu ngeri yeemu bali ne ku kaweefube w’okubasomesa okubayonsa naddala mu saawa esooka nga baakazaalibwa, nti kikulu ddala mu kuziimba obwongo bw’omwana oyo n’okuzimba omubirigwe.
Buli ng’ennaku z’omwezi 30 August, ensi yonna ekuza n’okwefumiitiriza ku bukulu bw’okuyonsa abaana.
Ministry y’ebyobulamu mu Uganda egamba nti bakizudde nga mu Uganda waliwo abaana abatafuna kuyonsebwa kumala n’okufuna emmere ey’ebirungo ebizimba omubiri.
Ebibalo biraga nti mu Uganda abakyala ebitundu 87% bebajjumbira okuyonsa abaana ekiseera ekyetaagisa eky’emyaka 2, okuva ku esaawa esooka n’emyezi 6 awatali kubawa mata gante nemmere endala.
Abakyala abalala ebitundu nga 13% nti tebeefiirayo kuyonsa baana olwokutya amabeera gaabwe okugwa.
Dr Daniel Kyabayinze, director avunanyizibwa ku byobujjanjabi ebitali bya mu ddwaliro agambye nti government eteekateeka okuggulawo amaterekero g’amata g’amabeere g’abakyala, okusobozesa abaana abageetaga.
Asabye abakyala abasobola okutona amabeere okuyambako mu nteekateeka eno.
Awadde eky’okulabirako eky’abakyala ababeera bakazaala nga balina amabeere mangi, n’abamu abaviibwako abaana babwe nebabeera nga tebasobola kuyonsa, n’abalina abaana ababeera bazize amabeere.
Mu nteekateeka eno, abakyala ababeera bewaddeyo okutona amabeere, babeera balina okusooka okukeberebwa endwadde ez’enjawulo.
Omumyuka wa kaminsona mu ministry y’ebyobulamu avunanyizibwa ku byendiisa y’abantu, Samalie Namukose, agamba nti beetagawo amateeka agakugira abantu okuliisa abaana emmere enkolere etazimba mubiri, ate nga tebabayonsezza kimala.