Ministry y’ebyobulamu eriko ebika by’abantu byefulumizza ebitasaanye kugenda kugemebwa omusujja ogw’enkaka ( Yellow fever) mu nkola ey’ekikungo egenda mu maaso okwetoloola eggwanga.
Abantu abalambikiddwa abatalina kugemwa kwekuli; abaagemebwa edda nga bagenda okufuluma eggwanga era nebawebwa yellow book, nga kati tebaweza myaka 10 bukyanga bagemebwa.
Abantu abalala abatakirizibwa kugemebwa mu nteekateeka eno, kuliko abakyala abali embuto, abayonsa, abantu abalina naakawuka ka mukenenya nga bali ku ddagala.
Abalala abatagenda kugemwa kookolo bebaalongoosebwako endwadde, abasimbulizibwako ebitundu by’omubiri mu bbanga ery’emyeka 2 ejiyise, abalina endwadde z’emitima, oba kookolo nabalala abalina endwadde ezoolukonvuba.
Dr. Daniel Kyabayinze, director avunanyizibwa ku kusomesa abantu ku by’obulamu eby’olukale mu ministry yeebyobulamu, agamba nti omuntu alina okuweebwa empiso emu yokka ey’okugrma yellow fever, ng’eno yemuyamba okwekuuma ekirwadde ky’enkaka ebbanga lyonna
Mungeri yeemu akaatirizza nti enteekateeka eno ey’okugrma enkaka mu nkola ey’ekikungo ebadde tetambudde bubi okutwaliza awamu, ng’abantu bajijjumbidde.
Ebifo ebigemebwamu mwemuli amasomero, ku masinzizo, ne ku malwaliro.
Kawefube aliwo atambuzibwa mu district 53 mu mabendobendo 5 okuli erye Ankole, Buganda mu greater Luweero, Buganda mu greater Masaka, Karamoja, Busoga, ne Teso.#
Bisakiddwa: Ddungu Davis