Ministry y’eby’obulamu ekuutidde abantu abalina obubonero bwa ssenyiga n’ebirwadde ebirala ebisiigibwa okwewala okulamaga e Namugongo, ng’omu ku kawefube wa buli omu okuziyiza okusaasaana kw’endwadde.
Guno gwe mulundi ogusoose mu bbanga lya myaka ebiri abalamazi okukkirizibwa okuddamu okulamaga ku lunaku lw’abajulizi e Namugongo, okuva obulwadde bwa COVID19 webwabalukawo mu 2020.
Abalamazi abasoba mu bukadde bubiri bebasuubira okwetaba mu malagama g’omwaka guno ku biggwa byombiriri, eby’qbakristu b’abakristaayo.
Ministry y’eby’obulamu etegezezza nti obulwadde bwa Covid 19 bukyaliwo wadde nga bubadde busasaanira ku misinde mitono.
Erabudde abagenda e Namugongo okwekuuma nga banaaba engalo buli kadde, okwambala mask, naabo abalina obubonero bwa ssenyiga okwekomako baleme kugenda kusiiga balala.
Emmanuel Ainebyona omwogezi wa Ministry y’eby’obulamu mu ggwanga agambye nti ku mulundi guno tebaataddewo bukwakkulizo bungi obw’okwetangira COVID19 eri balamazi.
Mu mbeera yemu Emmanuel Ainebyona agambye nti waliwo ekibinja ky’abakugu abatereddwawo okulondoola eby’obulamu by’abantu abayingira Namugongo, nga babasomesa okwekuuma endwadde enjawulo, ate n’okuyambako abanaaba bafunye obuzibu.
Mu kiseera kino abalamazi okuva mu bitundu bya Uganda ebyenjawulo, n’abava ebweru bongedde okutuuka
Abamu ku batuuse kye bibinja by’abalamazi abavudde mu Ankole Diocese nga bano batambulidde ennaku musanvu,era bebagenda okukulemberamu emikolo ku ludda lw’abakristaayo.
Olunaku lwa leero olwa bbalaza wategekeddwawo emisomo egikwata ku bufumbo n’amaka, egyategekeddwa ekkanisa ya Uganda, mu kawefube w’okukuuma amaka nga manywevu.
Emikolo gy’okukuza olunaku lw’okujjukira abajulizi abaafiirira eddiini gitegekebwa buli mwaka nga 3rd June.