Ministry y’ebyobulamu erangiridde nti yakuddayo mu parliament enjule etteeka erirambika ku nnima n’enkozesa y’ebiragalagala omuli enjaga n’amayirungi, lisobole okuddamu okuyisibwa.
Kooti etaputa ssemateeka yasazizaamu etteeka eryo (Narcotic drugs and Psychotropic substances control act) nga yesigama ku muwendo gw’ababaka abaayisa etteeka eryo okuba nti gwali tegwawera.
Wabaddewo n’ababadde batandise okusagambiza nga balowooza nti kyafuuse kyere abantu okukozesa nookunywa enjaga n’amayirungi.
Omuteesiteesi omukulu mu ministry y’eby’obulamu Dr Diana Kanziira Atwine, ategezezza nti etteeka lino lyetaagisibwa nnyo mu ggwanga, okutaasa ebiseera bya banna Uganda ebyomumaaso, n’okukendeeza ku biragalaragala mu ggwanga.
Mu ngeri yeemu essiga eddamuzi litangaazizza ku tteeka erirwanyisa okulima okukozesa n’okutunda ebiragalalagala eryasaziddwamu, litegeezezza nti kkooti etaputa ssemateeka tennakirizaako kukozesa, yadde okutunda enjaga.
Ensala yeesigamye ku muwendo ogwessalira ogw’ababaka abaayisa etteeka lino okuba nti gwali teguwera.
Bisakiddwa: Ddungu Davis