Bya Kato Denis
Ministry yébyobulamu ekkirizza eddagala ekika kya Fludora Fusion erifuuyira ensiri likozesebwe mu Uganda, mu kaweefube wÓkulwanyisa omusujja oguleetebwa ensiri.
Eddagala lino likoleddwa kampuni ya Quality Chemicals Limited nga eyambibwaako bannamukago aba Bayer.
Ligenda kuba likozesebwa okufuuyira ensiri munda mu bizimbe, omuli amasomero, amalwaliro,Hotel, Malls ,Arcades , enyumba zóbwananyini nébifo omukunganirwa abantu,era nga lyakufuuyirwa munda mu bizimbe mwokka.
Omukolo ogw’okulitongoza guyindidde ku Skyz Hotel e Naggulu.
Dr Daniel Kyabayinze akulira ebyobulamu mu ministry yébyobulamu ,agambye eddagala lino limaze okugezesebwa mu district 12 eziri mu bukiika kkono bwa Uganda, era nga lyakukendeeza ku muwendo gwabantu abatawaanyizibwa ensiri naddala abaana abato.
Dr Kyabayinze asabye abasuubuzi kinoomu námakampuni okukwasizaako government okuttukiza kaweefube wÓkufuuyira ensiri nébiwuka ebirala ebireeta endwadde.
Agambye nti buli lunaku abantu abasoba mu 16 bebafa omusujja oguleetebwa ensiri, so nga gugotaanya n’enkulakulana y’eggwanga olw’abantu okumala obudde obungi mu malwaliro na waka nga bajanjaba omusujja.
Baguma George nga yoomu kubakulira kampuni ya Quality Chemicals Limited agambye nti eddagala lino terigenda kutundibwa eri buli muntu, kubanga lyetaaga okukwatibwa obukungi era abagenda okulikozesa bakusookanga kutendekebwa ekimala.
Mungeri yeemu Baguma agambye nti eddagala lino terigenda kumala gatundibwa mu buli kifo olwokwewala abacupuzi.
Eddagala lino lyabulabe singa likwatibwa n’okufuuyirwa mu ngeri enkyamu.
Limala ebbanga lya myezi munaana nga likyakola mu nnyumba oba mu kizimbe mweriba lifuuyiddwa nga litta ensiri.
Lisobola okubeera ery’obulabe singa liyiika mu mazzi ag’okunywa.
Teryonoona butonde bwansi singa abalikozesa bagoberera ebiragiro ebibaweebwa.
Baguma agambye nti bino bye bimu ku byebasinziddeko okusalawo obutamala galitunda eri buli muntu, era abatono abanalikozesa bakusooka kutendekebwa.
Kampuni ya Quality Chemicals akadde konna yakulangirira ebifo werigenda okutundibwa