Ministry y’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo etandise okuzimba ekitebe ewagenda okukungaanira wofiisi zonna ezirina akakwate ku by’enjigiriza n’emizannyo.
Ekifo wekigenda okuzimbibwa kisangibwa Kyambogo okuliraana essomero lya Kyambogo Primary school emabega wa ssetendekero wa Kyambogo.
Ekitebe kino kisuubirwa okugyibwako engalo mu bbanga lya mwaka gumu n’ekitundu okuva kati.
Kisuubirwa okuwemmenta obuwumbi bwa shs 61 n’obukadde 900, ezewoleddwa okuva mu Islamic Development Bank.
Ssente zino government yakuzisasulako ebitundu 32% ate bank ya Islamic Development Bank yakuwaayo ebitundu 68%.
Minister Janet Kataaha Museveni agambye nti omulimu guno munene ddala era gwetaaga okwekenenyezebwa ennyo okulaba nti ensimbi zisaasanyizibwa bulungi, rra nti kyakuyambako okuzaawo obumu mu bakozi b’ebitongole bya government.
Government ebadde esaasaanya obuwumbi bwa shs n’ekitundu buli mwaka mu kupangisa ebifo 5 eby’enjawulo buli mwaka, ebitongole bya ministry yeebyenjigiriza webikolera, okuli ku kitebe ekikulu ekya ministry eno okuliraana paalamenti, ku Legacy house okuliraana NRM, ku Business Park e Nakawa newalala.
Ketty Lamaro, omuteesiteesi omukulu ministry y’ebyenjigiriza, agambye nti okuvuganya ku ttenda eno kubaddeko kampuni ez’enjawulo, wabula omulimu baguwadde kampuni ye Kuwait eya Sadeem Al-Kuwait Construction Company naaba Dott Services, okugukola era abakozi abasoba mu 700 bebokukolera mu kifo kino.
Ekizimbe kyakuzimbibwa mu miteeko ebiri nga oludda olumu lwakubaako emyaliro 8 olulala lwakubaako emyaliro 10.
Bisakiddwa: Ddungu Davis