Ministry y’eby’enjigiriza n’eby’emizanyo, etangazizza ku nteekateeka eyatongozebwa empya eyatuumibwa Digital Agenda Strategy, egenda okulungamya enkozesa y’ebyuuma bikali magezi mu masomero, eviiriddeko banna Uganda okwewunaganya.
Entekateka eno yatongozebwa minister weebyenjigiriza nga 22 omwezi oguwedde, wabula okuva olwo, banna Uganda bazze bagyemulugunyaako, nti kyakiviirako abaana mu masomero okwononeka ssinga banaabakiriza okukozesa amasimu, tablet nebyuma ebirala bikalimagezi nga bakyali ku mutendera gwa secondary.
Wabula mu nnambika efulumiziddwa ministry yeebyenjigiriza olwaleero, eraze nti amasimu ne Tablet, tebigenda kukirizibwa mu masomero nga bwekibadde kirowoozebwa abantu abamu, okutuusa nga waliwo amateeka agalungamya ku nteekateeka.
Dr. Denis Mugimba, ayogerera ministry yeebyenjigiriza asinzidde ku Media Center mu Kampala, naagamba nti mukiseera kino, essira liri mu kukozesa Computer za desktop ne laptop, eziteekebwa mu computer laboratory z’essomero, okusomesa abantu mu nkola endigito.
Dr. Mugimba agamba nti newankubadde gavumenti eteeka essira ku kutumbula ensomesa endigital, bafaayo nnyo okutangira ebikyamu ebiyinza okuyitira ku mitimbagano jino, era anaasangibwa ngakikoze kimenya mateeka okuli erya Computer Misuse Act, 2011.
Cue in ————–Dr Mugimba Digital
Dr. Mugimba agamba nti enkola eya Digital Agenda Strategy, egendereddemu okutumbula enkozesa y’ebyuuma bikali magezi nokutumbula enkozesa ya tekinolojiya.
Mugimba agambye nti abazadde ne banna byanjigiriza basanidde okwaniriza enteekateeka eno kuba yakuganyula nnyo abaana baabwe era amasomero gegavunanyizibwa okuwa abaana internet ezokukozesebwa.
Cue in —————-Education Internet
Xxxxxxx Davis xxxxxX