Ministry y’ebyenguudo n’entambula eyimirizza okuddaabiriza enguudo n’entindo ezaayonenebwa enkuba, okutuusa ng’enkuba ekendedde.
Minister w’ebyentambula n’enguudo, Gen. Edward Katumba Wamala mu kiwandiiko kyafulumizza alagidde districts ,munisipaali n’ebibuga, okuyimiriza okusaasaanya ensimbi akawumbi akamu akamu akaabawebwa okudaabiriza enguudo, nti kubanga zifa ttogge olw’enkuba ekyatonnya eyongera okuzonoona.
Ministry yebyentambula mu mbeera yeemu ,erabudde bannansi okubeera abegendereza nga bakozesa enguudo ezonooneddwa amazzi, okutaasa obulamu.
Entindo nenguudo eziwerako mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo omuli olutindo lwe Kafu olugatta district ye Masindi ku Nakasonga,Kiryandongo nendala ezizze zigwamu olw’emigga okubooga nejanjaalira enguudo n’ebitundu ebiwerako, nga kiva ku nkuba etonnya obutasalako.#