Ministry evunaanyizibwa ku by’amasanyalaze n’ebyobugagga eby’ensibo etandise okunonyereza ku bungi bwa kasasiro akungaanyizibwa mu bibuga ebyenjawulo, okusalawo engeri kasasiro oyo gyayinza okukozesebwamu okukolamu ebintu ebirala ebyomugaso.
Enteekateeka eno etandikidde mu Jinja city
Oketch Douglous okuva mu ministry ya energy abadde mu musomo ogutegekeddwa ku kitebe kya Jinja City, n’agamba nti kasasiro gwebagenda okusaako essira yooyo asobola okuvaamu nakavundira, n’akozesebwa okuvaamu amasannyalaze.
Amyuka mayor we ekibuga jinja Fazira Kawuma awanjagidde abatuuze mu kibuga kino naddala mu division ya Jinja North okwaniriza enteekateeka eno, n’okuyamba abagenda okukola okunoonyereza kuno .
Gyebuvuddeko president Yoweri Kaguta Museven yayisa ekiragiro eri abantu bonna abakwatibwako okusala amagezi mu bwangu agalwanyisa kasasiro atuumibwa mu bibuga n’ebitundu bye ggwanga ebirala.
Yalagira ab’ebibuga okusaawo enkola ezikungaanya kasasiro mu ngeri y’obuvunaanyizibwa akolebwemu ebintu ebirala eby’omugaso.#