Ministry of Internal Affairs egamba nti terina nsimbi zakuddaabiriza oba okugula ekyuma ekirala ekifulumya passports eziwedde okuteekebwateekebwa.
Ekyuma ekifulumya Passport ekisangibwa e Kyambogo kyafunye obuzibu, nekireetera Ministry of Internal affairs okuyimirizaamu enteekateeka eyókugaba Passport mu kifo kino e Kyambogo, okumala ebbanga eritali ggere.
Kino kireseewo obwerariikirivu eri banna Uganda abagala okugenda emitala wa Mayanja ku nsonga ezitalinda omuli okujjanjabwa n’ensonga endala.
Government ya Uganda yayimiriza eby’okukozesa passport zonna enkadde, era nga zonna zaakoma okukozesebwa nga 01 April, 2022.
Abetaaga passport bonna balina kufuna mpya eza East African Community.
Minister w’e nsonga zómunda mu ggwanga Kahinda Otafiire ategezezza CBS emmanduso nti ekyuma kyafiiridde mu kiseera nga Ministry terina wadde ensimbi ezigula ekyuma ekirala,
Minister Kahinda Otafire era ategezezza nti waliwo obulagajjavu mu bakozi be bitongole ebimu, abaviirako ebyuma nga bino ebyómugaso eri abantu obufuna obuzibu mu biseera webisinga okwetaagibwa.
Waula Minister Otafiire ategezezza nti bakyagezaako okutema empenda okusalawo ekiyinza okukolebwa, nti kubanga kyetaaga ensimbi nnyingi.
Wabula agambye nti abantu baddembe okugenda mu maaso n’okussaayo empapula zabwe ezisaba okuwebwa passports zisunsulwe.
Abantu abasinze okukosebwa beebo ababadde balinze nga passport ziri ku mutendera ogusembayo ogw’okufuluma.