
Bya Ddungu Davis
Ministry y’ebyenjigiriza erabudde amasomero gonna obutagezaako kulinnyisa bisale, nga tegasoose kufuna lukusa okuva mu bazadde ne ministry yennyini.
Ku ntandikwa y’olusoma oluyise ministry yawabula abakulira amasomero okuyita enkiiko z’abazadde bakkaanye ku nsimbi ezeetagisa okwongeramu, sso ssi bakulu ba masomero okusalawo nga bwebaagadde ekinyigiriza abazadde.
Ebbeeyi y’ebintu byonna buli olukya yeyongera kulinnya, era olusoma lwagenda okugwako ng’amasomero galaajana nti gaali tegakyasobola kugula kawunga na bijanjalo n’emmere endala okuliisa abaana.
Kino kireeseewo okusoomozebwa eri amasomero n’abazadde, naddala mu kiseera kino eky’okulwanyisa obulwadde bwa Covid 19, ng’abayizi balina okulya obulungi okusobozesa emibiri gyabwe okulwanyisa obulwadde singa buba bubakutte.
Dr.Denis Mugimba ayogerera ministry of education abadde ku media centre mu Kampala n’agamba nti ministry yataddewo enteekateeka enagobererwa amasomero nga teganayongeza bisale, naakubiriza n’amasomero okunjumbira enteekateeka y’okugema abayizi obulwadde bwa Covid 19.
Munnambika eno amasomero ga secondary galina kusooka okwebuuza ku bukiiko obutwala abazadde, okusaba olukusa mu ministry n’okusooka okulaga ensaasaanya y’ensimbi ezisabibwa.
Amasomero ga primary olukusa gakulusaba okuva mu bazadde ne ba CAO ba district nokuwa embalirira y’ensasaanya n’ensimbi ezo.
Mu ngeri yeemu Dr Mugimba agambye nti ministry ekyatubidde nokusoomozebwa kw’amasanyalaze, amazzi nebyetaago ebirala mu masomero gaayo agazimbiddwa mu masoso g’omubyalo, ekiremesezza emirimu ejimu mu masomero ago okutambula obulungi.
Agambye nti baasazeewo amasomero n’amatendekero agaddamu okuzimbibwa mu byalo ewatali masannyalaze, embalirira zonna ezikolebwa mussibwemu amasannyalaze g’amaanyi g’enjuba.