Ministry ya government ez’ebitundu ereese alipoota erumiriza olukiiko lwa ba kansala ba Kasese municipality,nti baali bateekateeka okuyisa etteeka eritumbula obufumbo n’omukwano ogw’ebikukujju mu bitundu bye Kasese ekikontana n’empisa Uganda kwetambulira.
Minister omubeezi owa government ez’ebitundu Victoria Rusoke Busingye mu alipoota gyatwalidde parliament anyonyodde nti okunoonyereza ministry eno kweyakola omwezi oguwedde ogwa January 2023, ,yazuula nti ensonga z’okutumbula omukwano ogwebikukujju yali ekwekeddwa mu tteeka ba kansala lyebaali batuumye The LOCAL GOVERNMENT (KASESE MUNICIPALITY Y) ACCESS TO HIV/TB SERVICES TO KEY POPULATIONS BYELAWS
Minister Rusoke anyonyodde nti ekiseera kyeyatuukirako mu Kasese municipality yasanga etteeka lino liri ku mutendera ogwokubiri, nga guno gweguddirira ogusembayo etteeka okuyisibwa.
Wabula minister agamba nti yadde ku ngulu etteeka lino ba kansala baali bateeeseteese nti lyali ligendereddemu nti okukendeeza ku kusaasaanya kw’akawuka ka mukenenya n’akafuba, nokusobozesa abalina endwadde zino okufuna eddagala eribamala, Munda waalyo baali bakweseyo ennyingo ezoogera ku kutumbula eddembe lyekikula kyabantu abatali bamu, okuli abatunda akaboozi akekikulu naabo abenyigira mu bufumbo bw’ebikukujju
Minister Rusoke abuulidde parliament mu alipoota ye eno, nti ebbago lyetteeka lino lyali liwomeddwaamu omutwe n’okuvugirirwa ekibiina kyobwannakyewa ki Human Rights Promotion Forum.
Minister Victoria Rusoke Busingye anyonyodde nti yalagira mbagirawo olukiiko lwaba kansala olwa munisipaali ye Kasese okusuula mbagirawo ebbago lino mu kasero, kubanga likontana ne ssemateeka weggwanga akirambika nti obufumbo mu Uganda bulina kubeera bwamusajja namukazi sso SSI mukazi ku mukazi oba omusajja n’omusajja
Minister era agambye nti yasabye ministry yensonga zomunda mu ggwanga okutunula mu nkola y’emirimu ey’ekibiina kyobwannakyeewa ki Human Rights Promotion Forum ekyali kivugirira etteeka lino
Okusinziira ku minister Rusoke, ministry ya government ezebitundu egenda kubangula ba kansala be Kasese, okubawabula ku mateeka gebatalina kuyisa agakontana ne ssemateeka w’eggwanga
Alipoota ya minister eno ejjidde mu kiseera ngeggwanga lisaanikiddwa amawulire gebikolwa by’obufumbo n’omukwano ogw’ebikukujju ogweyongedde mu ggwanga, naddala mu baana abato n’abavubuka naddala abali mu massomero.#