
Minister omubeezi avunanyizibwa ku buvubi Hellen Adoa yegaanye ebigambibwa nti ministry ye erina abagwira beyawadde ‘licence’ ezibakkiriza okutunda n’okusuubula ennuuni wamu n’okuvuba,eza bannauganda nezikasukibwa ettale.
Minister Hellen Adoa agambye nti ababaka ba parliament nebaatandise ebigambo ebyo ebitali bituufu, nti ministry eriko kampuni z’abagwira zeyawadde ‘licence’ ekitali kituufu.
Annyonyodde nti mu kiseera kino bakyekennenya kampuni zonna okuli ez’abagwira n’ezabannauganda ezaasaba ‘licence’ omusuubula ennuuni.
Hellen Adoa era ategeezezza nti ennuuni kyekimu ku bintu ebisinze okuvaako okutyoboolebwa kw’amateeka g’obuvubi mu ggwanga, n’okumalamu ebyenyanja mu nnyanja.
Ababaka ba palament abava mu bitundu ebirimu ennyanja baalangidde ministry y’obuvubi,obulimi n’obulunzi okubeera nekyekubiira mu ngaba ya ‘licence’ eri abasuubuzi b’ennuuni , baagambye nti ministry eno etiitiibwa abagwiira okusinga bannansi.
Omubaka wa Bbaale Charles Tebandeke ,agambye nti kampuni zabannayuganda azisoba mu 20 ministry yebyobuvubi yagaana okuziwa licence ,neeziweebwa abagwiira bokka.
Omubaka Tebandeke agambye nti mu kifo Kya ministry okuyamba bannansi ngebawa license nabo okugaknyulwa mu nnyanja yaabwe ,ebasindiikiramu maggye agalwanyisa envuba embi okubakuba emiggo egyolutatadde.
Omubaka omukyala ow’e Buvuma Suzan Nakaziba Mugabi agambye nti okusosola okuyitiridde mu kugaba license zino lyandiba kkobaane okugoba bannayuganda mu mulimu gwokuvuba
Dr Philip Lulume Bayiga ye asabye palament enonyereze ku kampuni engwiira eziweebwa license zino nebannanyini zo ,kubanga wandibaawo abanene abazeekweseemu okulemesa bannansi okubaako nekyebakola babasse obwaavu
Kinnajjukirwa nti gyebuvuddeko ,waaliwo abayindi abavaayo nekirowoozo ekyaali kisaba nti bannansi bagaanibwe okuddamu okulya empuuta ,nti zisigale nga zakutundibwa bweru waggwanga okwongera okufunamu ensimbi.