Minister we byentambula mu ggwanga Gen Edward Katumba Wamala alagidde ssaabaduumizi wa Police ye ggwanga Martin Okoth Ochola mu bwangu okukwata abasirikale bonna abateekebwa ku mulimu ogw’okukuuma olutindo lw’omugga Katonga okulutangira okuyitako emmotoka ennene.
Kigambibwa nti abasirikale bano bekobaana n’abagoba be bimotoka bino nebabiyisa ku lutindo luno oluvanyuma lw’okuwaayo akasente.
Okusinziira ku batuuze mu bitundu bye Mpigi, abasirikale bano balina abavubuka bebakolagana nabo okwogerezeganya n’abagoba b’emmotoka okuli ezitikka omusenyu, ezitambuza amatooke, n’ebirime ebirala saako ezitambuza Ente mu ngeri eya ba Bulooka.
Bagamba nti bano bebatuukirira abagoba be bimotoka bino okubaggyamu ensimbi wakati we mitwalo 50,000/= ne 100,000/= okusinziira ku buzito bwe motoka era bebazitwalira abasirikale.
Abatuuze era bagamba nti emmotoka zino wadde nga zaaganibwa wabula olutindo luno ziruyitako wakati we saawa 5 ne 7 ez’ekiro nga emmotoka entono ezisinga obungi ziwedde ku luguudo.
Amyuuka Omubaka wa government mu District ye Mpigi Hassan Kasibante agambye nti abavubuka abanyigira mu nguzi ey’ekika kino nabo bagenda kukwatibwa.
Minister we byentambula mu ggwanga Gen Edward Katumba Wamala ategezezza nti buli musirikale eyateekebwa mu kifo ekyo wakukwatibwa bunnambiro.
Olutindo lw’omugga Katonga ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka lwagwamu ku nkomerero ya May 2023, olwo emmotoka nezitandika okuyita ku lwe Mpigi – Gomba -Ssembabule – Villa Maria.
Omulimu gw’okuluddaabiriza gugenda mu maaso wabula ng’ebimmotoka ebinene tebinakkirizibwa kuddamu kulikozesa.#