Minister w’ebyemizannyo Peter Ogwanga akyaliddeko ttiimu ya Uganda Cranes mu Algeria, gyeyagenze okwetaba mu mpaka za CHAN.
Peter Ogwanga abawadde amagezi okukozesa obukodyo bwonna bwebalina nga bazannyira ttiimu y’eggwanga mu buli mpaka, nti kuba mukisa munene gyebali okwongera okwetunda eri Club ez’amaanyi.
Abakakasizza nti government netegefu okwongera amaanyi mu kuvugirira ttiimu z’eggwanga.
Abalala abakyaddeko munkambi ya Uganda Cranes ye mubaka wa Uganda mu Algeria Ambassador Alintuma Nsambu, president wa FUFA Eng Moses Magogo ne amyuka general Secretary wa National Council of Sports David Katende.
Uganda Cranes egenda kukomawo mu kisaawe ku lwokusatu wiiki eno okuzannya ne Senegal.
Omupiira gwayo ogwasoose yagudde maliri ga 0-0 ne Democratic Republic of Congo.
Bisakiddwa : Issah Kimbugwe