Kkooti enkulu ewozesa abalyake n’abakenuzi eyisizza ekiragiro ekikugira bannamawulire okukwata ebifaananyi mu kkooti, wakati nga minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’e Karamojja Mary Gorret Kitutu, mugandawe n’omuyambi we bavunaanibwa omusango gw’okwezibika amabaati gabaweggyere b’e Karamojja.
Omulamuzi Jane Kajuga y’ayisizza ebiragiro bino oluvannyuma lwa munnamateeka wa Kitutu Dr. James Akampumuza okusaba kkooti egobe Bannamawulire mu musango guno wakati nga guwulirwa.
Kyokka munnamateeka w’oludda oluwaabi Jonathan Muwaganya ategeezezza kkooti nti eky’okugoba Bannamawulire mu musango guno kyolekedde okweyoleka mu lwatu nti kooti erina kyebikkirira.
Mu nsala ye omulamuzi Jane Kajuga akkiriza obutagoba Bannamawulire mu musango guno, kyokka n’alagira nti kkooti ng’etudde tewajja kubaawo kukwata bifaananyi okuggyako okukwata amaloboozi n’okuwandiika.
Minisita Kitutu, mwannyina Michael Naboya Kitutu n’omuyambi we Josua Abaho bavunaanibwa emisango gyobulyake n’obukenuzi, oludda oluwaabi mwerubalumiriza okwezibika amabaati 14,500 agaali agabaweggyere be Kalamoja, wabula emisango egyo bazeemu okugyegaana.
Kkooti etaddewo olwa nga 11th omwezi gwa August 2023 okutandika okuwulira omusango guno
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam