Minister omubeezi ow’ebyensimbi n’okuteekerateekera eggwanga avunaanyizibwa ku bibiina by’obwegassi Hajji Haruna Kyeyune Kasolo alagidde police ne ba RDC okukwata abawozi b’ensimbi abamanyiddwa nga ba ‘ money lenders’ abatwala ebibanja by’abantu nti kubanga bakikola mu bumenyi bw’amateeka.
Minister abadde mu musomo gw’abakulembeze oguyindira ku ttendekero ly’amagye erya Oliver Tambo School of Leadership e Kaweweeta mu district ye Nakaseke.
Gyebamutegeerezza nti mu byalo bingi ba money lender bakyatwala ebintu by’abantu naddala ebibanja, nga bakozesa abantu endagaano ezitategeerekeka okubawa sente ezimanyiddwa nga ez’embaata ne kafuna.
Minister agambye nti government etaddewo enkola nnyingi ezituusa ku bantu ensimbi mu byalo okwekulaakanya naddala eya Parish Development Model, nga kiba kikyamu ba money lender okubuzaabuza abantu nebabatwalako ebintu byabwe.
Agambye nti licence za ba money lender bonna zagwako mu december 2023, nga n’olwekyo ebibiina by’obwegassi byebiteekeddwako essira, nti kubanga biwola abantu ensimbi ku magoba agasaaniddenga biyita mu kubasomesa n’okubakulaakulanya.
Omusomo guno gwategekeddwa Office ya Ssaabaminister okutendeka abakulembeze b’ebitundu abasukka mu 400 baavudde mu district 5 okuli Mbarara district, Mbarara city, Kalungu, Gomba ne Nakasongola.
Mulimu ba RDC ba ssentebe ba zi district, ba kkansala, abakulembeze b’abavubuka, ab’abaliko obulemu n’abakyala.
Omusomo guno gugenda kumala ennaku 11 gubumbujjira ku ttendekero ly’amagye erya Oliver Tambo School of Leadership e Kaweweeta mu district ye Nakaseke, nga babangulibwa mu mpeereza esaanidde eri abatuuze bebakulembera saako okubawa obukugu mu byenfuna n’ebyokwerinda byabwe.
Babayigiriza enkozesa y’emmundu era babaleetera abakulu okuva mu bitongole bya government babasomesa ebintu ebyenjawulo omuli obulimi, ebikwata ku nsimbi n’enteekateeka endala nnyingi.#
Bisakiddwa: Nsubuga Muzafaru