
Minister w’ebyensimbi n’okuteekerateekera eggwanga Matia Kasaija ayogedde kaati nti yakola kikyamu era neyetonda okuyisa ensimbi obuwumbi 10 n’obukadde 600 ezaaliyirira abantu omukaaga abagambibwa nti government yali yabaggyako ettaka lyabwe.
Minister Kasaija abadde mu kakiiko ka parliament akalondoola entambuza y’emirimu mu government,kyali kikyamu eyali minister w’ettaka nga kati ye kaliisoliiso wa government Betty Olive Namisango Kamya, okusaba ensimbi ezo ng’akozesa obuyinza bwe nga minister, so nga zaalina kusabibwa “accounting officer’’.
Minister Kasaija obuzibu abutadde ku bakozi ba ministry y’ebyensimbi bagambye nti nabo tebaakola kimala, okwekeneenya okusaba kweyali minister Betty Kamya bwebaali tebanawaayo nsimbi.
Ensimbi zino eyali minister w’ettaka Betty Olive Namisango Kamya yawandiikira minister Kasaija, ng’amusaba nti waaliwo abantu 6 abaali betaaga okuliyirirwa.
Bano kuliko Nagenda Stephen, Peter Busuulwa, Natalia Namuli ,Yisika Lwakana ne Richard Mugisha.
Betty Kamya bweyali mu kakiiko kano, yategeeza nti naye yasinziira ku biragiro bya president okusaba ensimbi,okuliyirira abamu ku bantu abo.
Akakiiko kaamulagira anoonye ebiwandiiko byonna ebikwata ku nsimbi ezo n’ekiragiro ekyamuweebwa,oluvannyuma wakuddayo mu kakiiko abyanjuleyo.
Wabula minister kasaija abuulidde akakiiko ka COSASE nti ekiragiro kya president ekyo ye takirabangako, nategeeza nti agenda kuddayo yetegereze ebiwandiiko bye oba nga bakisaayo, nti naye ye nga minister w’ebyensimbi takirabangako.
Kinajjukirwa nti eyali akulira Uganda Land Commission, Beatrice Byenkya Nyakayisiki, yabuulira akakiiko kano nti ku bantu 6 abaaweebwa ensimbi zino, omu yekka yeyaali omutuufu okuliyirirwa abasigadde baali bambewo.
Minister Kasaija asabye ababaka ku kakiiko kano nti bayite eyali omuteesiteesi omukulu mu ministry yebyensimbi Keith Muhakanizi, Keneth Mugambe eyaali director w’embalirira mu ministry yebyensimbi nabalala, nabo batangaaze ku nsimbi zino.
Annyonyodde nti nga ye minister fayiro gyebaamuwa okusaako omukono ekwata ku nsimbi zino, teyagitunulamu nnyo olwensonga nti yaali asuubira nti abakulu bano baali bagyetegerezza ekimala.
Joel Ssenyonyi ssentebe w’akakiiko akekennenya ebitongole bya government agambye, nti bakooye okwetonda kwa minister Kasaija buli lwaakola vvulugu nga yetonda, songa ensimbi z’omuwi w’omusolo ezaandiyambye bannansi zibbibwa abantu ab’olubatu.
Joyce Bagala omubaka omukyala owa district ye Mityana atadde minister kunninga nti bwaaba takyaasobola mirimu alekulire okusinga okuteeka eggwanga mu bizibu .