
Ministry yensonga zómunda mu ggwanga eragidde abakulira Police ne UPDF, bakwate abajaasi ba Millitary abagambibwa nti bakkakanye ku ba police ba Traffic nebabapakya empi mulujudde n’okubakwata amataayi.
Kigambibwa nti abasirikale bano baabadde mu Kampala, era waliwo akatambi akayitingana akalaga omujaasi ng’awalabanya omusirikale wa police yokunguudo, kwosa okumukwata amataayi emisana ttuku.
Minister wénsonga zómunda mu ggwanga Maj Gen Kahinda otafiire agambye nti nga eggwanga tebasobola kukkiriza basirikale basiwuufu bampisa,n’okuttattana ekifaananyi ky’amagye.
Otafire agambye nti bagenda kutuula ne ssabaddumizi wa police kwossa adduumira military bayigge abasirikale bano banyonyole ekyabakubiza bannabwe empi.
Gyebuvuddeko mu bitundu bye Nakawa, abasirikale mu ggye lya UPDF baakuba abapolice ba Traffic, olwokubalemesa okuyita mu kkubo gyebaali tebalina kuyita.