Minister omubeezi ow’abakozi n’emirimu Rtd Col Charles Okello Engola Mac-Odwogo akubiddwa ebyasi ebimuttiddewo.
Amasasi bagamukubidde mu maka ge mu bitundu bye Kyanja mu Kampala.
Omukuumi we owokulusegere Private Sabiti Wilson y’amukubye amasasi, naye oluvannyuma neyetta.

Minister Charles Angola yakomye okulabwako mu lujudde olunaku lwajjo, ku mikolo gy’okukuza olunaku lw’abakozi egyayindidde mu district ye Namutumba.
Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga agambye nti omusirikale asse minister.m y’abadde omukuumiwe owokulusegere, era ng’alumizzane bakuumi banne abalala babiri okuli Ronald Otim n’omulala abaddusiddwa mu ddwaliro nga bali mu mbeera mbi.
Minister w’ekikula ky’abantu Betty Amongi atuuse mu maka g’omugenzi, era nga yabadde akola ne minister Charles Engola.
Omumyuka wa sipiika Thomas Tayebwa n’abakungu abalala nabo batuuse mu maka g’omugenzi.
Amagye ne police gayiiriddwa mu maka g’omugenzi n’ekitundu kye Kyanja okukuuma emirembe.

Minister Charles Okello Engola MacOdwongo abadde munnamagye yawummula ku ddaala lya Colonel.
Afiiridde ku myaka 64, nga yazaalibwa 12 October,1958.#