Minister w’ekikuka ky’abantu Betty Amongi agambye nti Pvt Sabiiti Wilson asse minister w’abakozi Charles Engola abadde yakamala naye omwezi gumu gwokka.
Sabiiti Wilson minister amutidde kumpi n’emmotoka mu maka ge bw’abadde ateekateeka okugenda okukakkalabya emirimu gy’eggwanga.
Minister Amongi asangiddwa mu maka g’omugenzi ewakungaanidde n’abakungu abalala agambye nti omukuumi ono yagibwa mu nkambi e Bbombo mugye lya UPDF n’agattibwa ku bakuumi ba minister abalala.
Amongi abadde akola ne minister Charles Engola mu ministry yeemu.
Abatuuze b’e Kyanja aberabiddeko ku musirikale ono ng’ataamye obugo, bagamba nti azze awandaga amasasi mu bbanga nga bweyevuma obwavu obuyinze, kyokka ng’akuuma minister mulamba.
Oluvannyuma aliko ka saloon keyesozze neyetulisizaamu ebyasi naye ebimusse.
Omwogezi wa police Fred Enanga agambye nti mu kiseera kino tebanatuuka ku nsonga ya nkomeredde eyinza okuba nti yetanudde omukuumi okutta mukamawe.
Amyuka omowgezi wa UPDF Deo Akiiki agamba nti omujaasi ono singa badde tafudde abadde yetaaga kukeberwa omutwe, ngóbo olyawo yandiba ngábadde nekimutawaanya mu bwongo.#