Minister wéby’ettaka Judith Nabakooba alagidde abakozi bonna abakolera ku ofiisi y’eby’ettaka e Bukalasa mu district ye Luweero bayimirizibwe ku mirimu.
Abazigu baamenya ofiisi y’eby’ettaka e Luweero nga 21 June,2023 nebakuuliita n’ebyapa by’ettaka ebiwerako computer, n’ebiwandiiko wakati mu kwemulugunya ku vvulugu ali ku ofiisi eno.
Mu bbaluwa eri omuteesiteesi omukulu owa Ministry y’eby’ettaka ku nkomerero ya June 2023, Minister Nabakooba yalagidde abakozi ababadde mu offisi eno bawummuzibwe oluvannyuma lw’okuzuula vvulugu eyotobese mu ngeri emirimu gya ofiisi eno gyegikolebwamu omuli okugaba ebyapa nébirala.
“All key staff currently serving at Bukalasa Ministrial Zonal office should be suspended with immediate effect untill cleared by investigations of police”
Bino bijjidde nga Poliisi ne bitongole ebikuuma ddembe ebirala biri mu kunoonyereza ku ngeri abazigu gyebamanyamu ofiisi zino nga ate waaliwo abakuumi.
Ensonda zitegezzezza nti mu vulugu eyakazuulwa abadde mu offisi eno, kwekuli okubeera ng’amasanyalaze gabadde gavaavako kyokka nga ne generator eyateekebwawo ku ofiisi eno tebeeramu mafuta nga kino kibadde kisanyalazza nnyo emirimu.
Mu birala ebizuuliddwa; nti abakozi mu ofiisi eno babadde bekobaana ne bannakigwanyizi nebakyusa ebyapa by’ettaka by’abantu mu ngeri ey’olukujjukujju n’okukyusa obwananyini bw’ettaka awatali kugoberera nambika ntuufu eya ministry y’ebyettaka.
Ensonda era zongedde okutegeeza CBS nti Minister Nabakooba akizudde nti abamu ku bakozi ba ofiisi eno babadde bateeka ebyapa ebifu ku system y’ebyapa by’ettaka okumala ekiseera nga kya mwezi gumu, okusobozesa bannakigwanyizi okufera abantu nga babalaga ngébyapa bwebiri ebituufu, oluvannyuma nebabiwanduukululayo ku system mu ngeri emeenya amateeka.
Vulugu omulala azuuliddwa nti abakozi b’eby’ettaka ku ofiisi eno babadde bekobaana n’akakiiko k’ebyéttaka mu district ye Luweero okunyaga ettaka lya government nga bakolaganira wamu ne ba bbulooka b’ettaka, era nga kino kyekibadde kiviirako abantu okusengulwa okuva ku bibanja byabwe mu ngeri emeenya amateeka.
Mu bbaluwa eno, Minister Nabakooba yewuunyizza engeri ofiisi eno gyeyazzeemu okukola, nga n’abamu ku bakozi abagambibwa okwenyigira mu vulugu ali mu ofiisi eno tebanaba kuwaayo alipoota eri abakulu ba ministry ku ngeri obunyazi buno gyebwakolebwamu.
Minister Nabakooba alagidde omuteesiteesi omukulu mu minister y’eby’ettaka Dorcus Wagima Okalany ateekeyo abakozi abalala mu bwangu wamu n’okuteekawo enteekateeka ey’okutereeza vvulugu ali ku ofiisi eno.
“A comprehensive report be presented within 3 months spelling out Actions and recommendation made to clean the land office”
Minister Judith Nabakooba wabula bw’atuukiriddwa CBS okubaako kyayongera okuttaanya ku biragiro byeyawadde agaanye okubaako byayongera okuttaanya.
Ate kawefube wokufuna Omuteesiteesi omukulu mu ministry y’eby’ettaka Okalany Dorcus agudde butaka.