Government eragidde ekitongole ekirungamya abawola ensimbi ekya Uganda MicroFinance Regulatory Authority, obutazza buggya ndagaano za ba money lender bonna mu ggwanga, olwemivuyo egyetobese mu mulimu gwabwe.
Minister Omubeezi owa MicroFinance mu ggwanga ggwanga Hon Kyeyune Haruna Kasolo, abadde ku Hotel Africana ng’atongoza enkola y`okulondoola emirimu gy’abawozi b’ensimbi, nga bakozesa emitimbagano eya Online Performance Monitoring Tool PMT, ereteddwa omukago ogwa Association of MicroFinance Institutions Of Uganda AMFIU.
Haruna Kasolo agamba nti, omwaka guno 2023 afunye bannauganda bangi abemulugunya ku bawozi ba ssente (Money lender), ababadde baava ku ky’okuwala ssente naye nga bafuuka babbi abanyagulula bannauganda nga bakozesa olukujjukuju.
Kasolo wano wasinzidde nalagira aba Uganda MicroFinance Regulatory Authority, abali bali mu nteekateeka ez’okuzza obuggya license za ba money lender, okusooka okujiyimiriza.
Haruna Kasolo era abuuliridde bannauganda abagala okugaggawala okukomya omuze gw`okumalira ku mumwa buli ssente zebakola.
Edith Tusubiira Ssenkulu wa Uganda MicroFinance Regulatory Authority, agambye nti ekiragiro kino eky’okuyimiriza licence za ba money lender bagenda ku kiteekesa mu nkola.
Jackline Mbabazi Ssenkulu w`Omukago gwa Association of MicroFinance Institutions Of Uganda AMFIU, agambye nti enkola eno gyebatongozezza eya Online Performance Monitoring Tool PMT, eganda kuyambako nnyo MicroFinance munzirukanya yemirimu.
Banokoddeyo abantu abewola mu kampuni eziwola ensimbi, abagufudde omugano okukyusakyusa endagaano kwebawolera, nekigenderera eky’okunyaga ebintu by’abantu ababeera balemereddwa okusasula.
Mu ngeri yeemu waliwo n’abanyu abewola ensimbi mu kampuni ez’enjawulo n’ekigendererwa eky’okubabba.
Bisakiddwa: Musisi John