Omuzannyi wa club ya Vipers era nga ye captain wa club eno, Milton Kariisa, awangudde engule y’omuzannyi asinze banne okucanga omupiira mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League season ewedde eya 2022/23.
Emikolo gy’okutikkira abazannyi abaasinze season ewedde gibadde ku Sheraton Hotel mu Kampala.
Milton Kariisa okutuuka ku buwanguzi amezze banne okubadde Charles Bbaale owa Villa Jogo Ssalongo ne Simon Tamale eyabadde owa Maroons.
Milton Kariisa era awangudde engule endala 3 okuweza 4, okuli engule ey’omuzannyi asinze okukola emikisa egivaamu goolo, abatendesi bamulonze nga omuzannyi asinze ate nateekebwa ne ku ttiimu ey’abazannyi 11 abasinze okukola obulungi.
Mu ngeri yeemu omutendesi wa club ya Vipers, Alex Isabirye Musongola, alondeddwa ng’omutendesi asinze banne, amezze banne okubadde Jackson Magera eyali owa Villa Jogo Ssalongo ne Ssenfuma Muhammad owa Maroons.
Simon Tamale eyali owa club ya Maroons alondedwa ng’omukwasi wa goolo asinze, Laban Tibita owa club ya Busoga United alondedwa nga omuwuwutanyi asinze.
Hillary Mukundane owa club ya Vipers ye muzibizi asinze.
Charles Bbaale owa Villa Jogo Ssalongo ye muteebi asinze.
Engule ey’omuwendo eya Platinum Award eweeredwa Andrew Ffimbo Mukasa, Darius Ojok owa club ya Maroons.
Omuzannyi omuto asinze ye Allan Kayiwa owa Express FC mukwano gwabangi yasinze okuteeba goolo ennyingi 13.
Club ya Blacks Power erondeddwa ng’esinze empisa, n’engule endala ezigabiddwa era abawanguzi baweereddwa ebirabo ebyenjawulo.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe