Bya Ddungu Davis
Eddwaliro lye Mengo likuzizza emyaka 125 bukyanga litandikibwawo mu mwaka gwa 1897.
Eddwaliro lino lyerisinga obukadde mu Uganda n’obuvanjuba bwa Africa bwonna okutwalira awamu.
Lyatandikibwawo omuzungu Dr.Sir Albert Ruskin Cook eyali azze okubuulira enjiri ey’omwoyo, wabula nasanga nga n’emibiri gya bannauganda gyali gigoyezebwa endwadde ezenjawulo.
Yatuuka kuno nga 15 February 1897 ate nga 22 February 1897, n’ategeka olusiisira lw’ebyobulamu olwasookera ddala wansi w’omuti ku kasozi Namirembe najjanja abantu.
Eno ye yali ensibuko y’obujanjabi bw’eddagala ezzungu wano mu Uganda,n’eddwaliro lye Mengo okutuuka kakano nga lijaguza emyaka 125.
Dr. Sir Albert Ruskin Cook yayambibwangako abasawo abalala ab’amadaala aga wansi omuli Roy Billington,Margret Bond Luke ne Catherine Cook.
Catherine Cook yeyali mukyala wa Dr. sir Albert Cook,era omukyala oyo yeyatandikawo essomero ly’abasawo n’abazaaliisa erya Mango Midwifery and nursing school.
Abasawo bano bonna babbulwamu waadi z’abalwadde mu ddwaliro lino erye Mengo.
Ssabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, The Most Rev Dr Samuel Steven Kazimba Mugalu y’abadde omugenyi omukulu nga lijaguza emyaka 125.
Asabye government okutereeza ebyobulamu n’okudaabiriza amalwaliro mu Uganda, okutaasa bannauganda abatalina busobozi butwalibwa mu nsi z’ebweru.
Ssabalabirizi Kazimba asinzidde mu kusaba okwenjawulo ku lutikko ya St. Paul e Namirembe,okutegekeddwa eddwaliro lye Mengo naagamba nti kyenyamiza okulaba ng’abantu balemererwa okufuna obujjanjabi mu Uganda, nebatwalibwa ebweru,ate nebasaasanyizibwako ensimbi ezisukiridde ezandibadde zisobola okubaako kyezikola okutereeza ebyobulamu nebiganyula bannauganda bonna.
Ssabalabirizi Kazimba agamba nti kyetaagisa amalwaliro gaakuno okuteekebwamu ebyetaago ebisaanidde.
Ajjukizza nabasawo okufaayo okukola obuvunanyizibwa bwabwe nokuteekesa mu nkola ebyabalagirwa, obutakaayukira balwadde n’okwewala enguzi.
Omulabirizi we Namirembe, kitaffe mu Katonda, Wilberforce Kityo Luwalira, asabye abaddukanya eddwaliro lye Mengo okusigala nga bakyali ku bigendererwa ebyalitandisaawo nokukwasizaako abali mu bwetaavu.
Akulira eddwaliro lya Mengo, Dr Rose Mutumba, agamba nti eddwaliro newankubadde liwezezza emyaka 125, likyalina ebyetaago bingi omuli ebizimbe ebikaddiye, obwetaavu bwekyuma ebikola omukka gwa oxgyen, nobuvujjirizi obukyali obutono.
Eddwaliro lye Mengo liwaddeyo obukadde bwa shs 20 okuddukirira omulimu gw’okusasula ebbanja lya Church House.