Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abayimbi ne bannakatemba okufuba okuwa emirimu gyabwe ekitiibwa, ate bagikwate nga omulimu gwonna oguvaamu ensimbi.

Abadde yeetabye mu kivvulu ky’Omuyimbi Rema Namakula ekyatuumiddwa Melodies Of Love kibadde ku Sheraton Hotel mu Kampala.

Katikkiro agambye nti okuyimba ssi mulimu mwangu naakamu kuba nagwo guggwaawo, naasaba abayimbi basige ku zimu ku nsimbi zebakola baziteeke mu ebintu ebirala omuva ensimbi.
Katikkiro mungeri yeemu yeebazizza omuyimbi Rema Namakula olw’okubeera omuyimbi ow’empisa ,gwagambye nti abadde kyakulabirako kinene mu kisaawe ky’Okuyimba.
Katikkiro era yebazizza bba wa Remah Dr. Hamza Ssebunnya olw’obutalekerera mukyalawe, era n’awa amagezi eri abaami abalala okuwagira bakyala babwe mu mirimu gyebakola, era n’abakyala bakole bwebatyo.

Remah Namakula ayimbye ennyimba ze zonna ez’omukwano, wamu n’abayimbi abalala abamuwerekeddeko, okuli Juliana Kanyomozi, Chris Evans, Aziz Azion n’abalala.
Remah yeebazizza bannayuganda abamuwagidde mu lugendo lwe olw’Okuyimba, era neyeeyama obutabaswaaza.
Bisakiddwa: Kato Denis
Ebifaananyi: MK Musa