Akabenje kagudde eKyalusowe ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka, ng’onaatera okutuuka mu Nyendo.
Aberabiddeko ng’akabenje kagwawo bagamba nti waliwo omugoba wa boda boda abadde ayisa Taxi (drone) ku mukono omukyamu, olwo owa drone UBJ 464G bwawugudde owa bodaboda ate naayambalagana n’emmotoka ya Tonny Mbaziira UBG 143H.
Mmotoka zitomereganye bwenyikubwenyi.
Abadduukirize batuuse mangu nebatema emmotoka zombi ezifunye akabenje, nebaggyamu abantu ng’abamu bakutusekutuse amagulu naddala ababadde mu taxi.
Tonny n’abalala kwakategeerekako omuyimbi Aidah Mugo baddusiddwa mu ddwaliro e Kitovu nga bakoseddwa nnyo.#