Abadde akulira oludda oluvuganya government mu parliament Owek Mathias Mpuuga Nsamba mu butongole awaddeyo wofiisi eri munne amuddidde mu bigere Joel Ssenyonyi.
Mathias Mpuuga Nsamba nga yafuuse Commissioner wa Parliament akuutidde Joel Ssenyonyi okwegendereza abamu ku babaka ba parliament ba ssemugayaavu nti ng’ ogwabwe gwakwogerera n’okusaaba enziro eri abo abalina byebakola okutereeza eggwanga.
Mpuuga agambye nti obukulembeze bwe bulina kyebukoze ku lugendo olunene olwokukyusa eggwanga wakati mukusoomozebwa ,kwekumuwa amagezi atandiikire wakomye
Mpuuga ayagaliza amuddidde mu bigere obuweereza obulungi ,era amusuubiza ekiseera kyonna nti wakubaawo okumukwasizaako mu lugenda lwatandiise nga akulira oludda oluvuganya government.
Akulira oludda oluvuganya government omuggya Joel Seenyonyi yebaziza Owek Mpuuga n’abakulembeze bonna baabadde aweereza nabo, naagamba nti Owek Mpuuga wakomye ye wagenda okutandikira.
Mu butongole Joel Ssenyonyi nga 10 January,2024 atandiise obuweereza bwe ng’akulira oludda oluvuganya government mu parliament, songa Owek Mathias Mpuuga Nsamba naye atandise obuvunanyizibwa bwe nga commissioner ku lukiiko okufuga parliament.#