Ttiimu y’essaza Buddu ekiguddeko mu mpaka z’amasaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere, Kyadondo egirumbye omwayo mu kisaawe kya Masaka Recreation grounds n’egikubirayo goolo 1-0.
Goolo ewadde Kyadondo obuwanguzi etebeddwa Walugembe Derrick mu kitundu ekisooka, kyokka Buddu nayo efunye emikisa egisinze obungi naye n’eremererwa okugiteeka mu katimba.
Abawagizi ba ttiimu y’essaza omupiira bweguwedde batabukidde omutendesi wabwe Simon Peter Mugerwa, nga bagaala ababulire ekiviiriddeko ttiimu yabwe okukubibwa omwayo, era abeby’okwerinda bebamuggye ku kisaawe.
Ttiimu y’essaza Gomba ekubye Kabula goolo 2-0 mu kisaawe e Kabulasoke, nga goolo zino ziteebeddwa Lukoye Samuel ne Mugisha Derrick, nga omupiira guno gwetabidwako Kitunzi Jackson Musisi ne Lumaama David Luyimbaazi Kiyingi.
Mungeri yeemu Busiro ekubye Mawogola goolo 1-0 mu kisaawe kya Kabaka Kyabaggu e Wakiso.
Kyaggwe egudde maliri ne Buwekula goolo 1-1 mu kisaawe kya Bishop e Mukono.
Ssingo ekubye Butambala goolo 2-1 mu kisaawe e Mityana.
Bulemeezi ekubye Busujju goolo 1-0 mu kisaawe kya Kasana Luweero.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe