Okukuza olunaku lw’essaza ly’ekelezia erye Masaka kukulembeddwamu Bishop Silverus Jjumba eyekokkodde abantu abesomye okunyaga ettaka lya klezia.
Emikolo giyindidde mu kisaawe kya sports Arena e Kitovu. Bishop Jjumba agambye nti abanyaga ettaka lya klezia bazingamya emirimu gya Katonda, nagamba nti kye kiseera bekomeko.
Ku mukolo gwegumu kubaddeko okukuza olunaku lwa Yezu Kabaka. Bishop Jjumba aliko n’ekirabo kyakwasizza eyali omumumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi ng’amwebaza olw’obuweereza bwe.
President w’ekibiina ky’eby’obufuzi ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu naye agwetabyeko, navumiririra ebikolwa ebirinnyirira eddembe ly’obuntu naddala abasirikale abatta abantu awatali kusooka kutwalibwa mu mbuga z’amateeka.
Yebazizza Klezia bulijjo okunywerera ku mazima n’obwenkanya nga boogera ku bikolwa ebinyigiriza abantu.
Wabula wabaddewo embeera etadde abakkiriza ku bunkenke, poliisi bwekubye omukka ogubalagala mu bantu ababadde bakunganidde ku mulyango oguyingira mu kifo ewabadde missa ng’egenda mu maaso.Wadde bakubiddwamu omukka ogubalagala okubagumbulula basoose kwerema nga bawoza kimu nti bagala kulaba ku Kyagulanyi Ssentamu, oluvannyuna poliisi ebasinzizza amaanyi nebatwala entyagi.
Embeera y’emu yebadde e Kirowooza Masaka Kyagulanyi bw’abadde agenze ku kiggya gyebaaziika eyali omukuumiwe Frank Ssenteza, ng’ono emmotoka y’abeby’okwerinda yamulinnya ku nkulungo ye Busega bwebaali batwala munnamawulire mu ddwaliro eyali akubiddwa essasi nerimuyuza omutwe.
Ekiseera ekyo Robert Kyagulanyi Ssentamu yali Masaka ku kakuyege w’okunoonya akalulu k’obwa president.
Akulira oludda oluwabula gavumenti mu palamenti era omubaka wa Nyendo Mukungwe Mathius Mpuuga Nsamba naye asinzidde mu kusaba kw’okukuza olunaku lw’essaza lya klezia Masaka, navumirira ebbago ly’etteeka eriri mu palamenti erigenderera okukkiriza abakyala okwetikkira abalala embuto, wabula ng’abaana tebawebwa mukisa kumanya bakyala byabazaala (surrogacy).
Omubaka Mpuuga agambye nti singa kino kikkirizibwa mu mateeka kyakuviirako Uganda okulinnyisa omuwendo gw’abantu bakiwagi ba nnantagambwako.