Abadde Ssaabapolice wa Uganda Martin Okoth Ochola mu butongole awaddeyo wofiisi eri abadde omumyuka we Maj Gen Tumusiime Katsigazi,agenda okugikuuma okutuusa okukulembeze w’eggwanga lwanalonda ssabapolice omuggya.
Martin Okoth Ochola aduumidde police y’eggwanga okumala ebbanga lya myaka 6, okuva mu March 2018, yadda mu bigere bya Gen Edward Kale Kayihura.
Omukolo gw’okuwaayo wofiisi gubadde ku kitebe kya Police e Nagguru, gwetabiddwako abakungu okuva mu bitongole ebyenjawulo okubadde owa Crime Intelligence Brig. Christopher Ddamulira, Grace Akullo owa Interpol, Tom Magambo owe kitongole ekinoonyereza ku misango CID, akulira abakozi mu police Chief of Staff Abel Kahinda n’abakulu abalala..
Martin Okoth Ochola bw’abadde awaayo wofiisi obubaka bwe abuyisizza mu mwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga,neyebaza president Museveni olw’okumuwa omukisa okuweereza mu police, namwebaza olw’okumukkiririzaamu.
Yebazizza ne minister w’ensonga zomunda mu ggwanga Maj Gen Kahinda Otafiire n’obukulembeze bwa police obwenjawulo okukolera wamu naye ne batwala Police ku ddala eddala.
Abadde ssabapolice wa Uganda Ochola aliko n’akatabo kafulumizza akanyonyola byonna byakoze mu myaka 36 gyamaze mu police, kaliko emiko 300.
Ochola agambye nti ebbanga ly’amaze mu police tafunye kusoomozebwa kw’amaanyi, era asobodde okukolera awamu ne bakulembeze banne okuziyiza obumenyi bw’amateeka mu ggwanga.#