Obwakabaka bwa Buganda bufulumizza entekateeka egenda okugobererwa mu kudduka emisinde gy’amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka egigenda okubeerawo ku sande nga 7 April,2024 mu Lubiri e Mengo.
Emiryango gy’OLubiri gyakuggulwawo ku ssaawa 11 ezokumakya, era abantu bokka abanaaba bambadde obujoozi bw’emisinde gyomwaka guno 2024 bokka bebokukkirizibwa okuyingira.
Abagenyi abalina ebbaluwa ezibayita bakukozesa Wankaaki wo Lubiri basimbe ebiddduka ku Kisaawe kye Ssomero lya Lubiri High.
Abalala abalina ebidduka bakukozesa omulyango oguva mu Ndeeba (Nalongo ), era bakubisimba mu kibangirizi ekiri okumpi ne Nabagereka Primary School.
Omulyango ogutunudde mu Kisenyi (Kalaala) n’oguva e Kibuye ( Ssabagabo) gyakukozesebwa babigere bokka.
Wateereddwawo ne Parking y’e bidduka endala ku luguudo Mwanga 2 okuliraana essomero lya Eagles Nest.
Abaddusi bakutandika n’okukola dduyiro nga tebanasimbulwa kugenda ku misinde.
Abaddusi bonna bakukozesa Wankaaki okufuluma olubiri okuyita ku Luguudo KabakaNjagala , bakwate ku Kisingiri Road , olwo baawukanire ku mulyango gwa Bulange.
Abadduka Kilo Metre 21 baakwolekera ebitaala bye Nateete, boolekere Busega, Nothern Bypass baviireko e Masanafu nga bagoberera endagiriro.
Abadduka ba Kilo Metre 10 bakwambukira ku Ekeleziya e Lubaga , ate aba Kilo Metre 5 bakukozese Nabunnya Road nga bagobereera obupande obunassibwa ku makubo gyebanaayitira.
Minister wa Bavubuka emizannyo n’ebitone Ow’ek. Robert Sserwanga Salongo yayanjudde entegeka eno ku mukolo ogubadde ku Bulange e Mengo.
Akulira Police y’Ebidduka mu Kampala n’emiriraano Alinaitwe Godrine, ategeezezza nti enguudo ezimu zakuggalwa ku Sande okuwa omwagaanya abaddusi ,nga ku zino kuliko Ring Road , Kabusu , Busega , Kisenyi n’endala, asabye abantu okugondera enkyukakyuuka ezo.
Omwogezi wa Police mu Kampala n’emiriaano Luke Oweyesigire agambye nti ebitongole by’eby’okwerinda byetegefu okukuuma abantu ba Kabaka abagenda okwetaba mu Misinde, nalabula abakozi b’effujjo obutetantala kulinnya mu Lubiri.
Emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka egy’omwaka guno gyakutambulira ku kaweefube w’okulwanyisa obulwadde bwa siriimu.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius