Club ya Manchester United egucangira mu liigi ya babinywera eya Bungereza, essaawa yonna yandirangirira, Erik Ten Hag, nga omutendesi omugya owa club eno.
Erik Ten Hag singa alangirirwa wakudda mu bigere bya Ole Gunner Sosha eyagobwa ku mulimu guno Season eno.
Ensonda okuva mu Manchester United ziraze nti enjuyi zombiriri zituuse ku kukaanya, yadde nga Manchester United eraga nti ekyali mu kwogerezeganya nabatendesi abenjawulo.
Manchester United mu katale k’okunoonya omutendesi omugya ebadde eyogereza abatendesi 4 okuli Erik Ten Hag owa club ya Ajax eya Budaaki, Mauricio Pochettino owa club PSG eya France, Luis Enrique owa ttiimu ya Spain ne Julian Lopetegui omutendesi wa club ya Sevilla eya Spain.
Kyokka oluvanyuma lwa Manchester United okutuukirira abatendesi bonna, kirabise nga Erik Ten Hag ayise ebigezo by’okutwala omulimu guno.
Wabula singa basalawo okumuleeta, balina okuliwa obukadde bwa pound 1.7, nti kuba endagano ye ne Ajax ebadde esigaddeko omwaka gumu.
Munne bwebabade ku mbirabye Mauricio Pochettino babadde bakumuliyirira ensimbi obukadde bwa pound 15 ate nga ne PSG tebadde netegefu kumala gamuta.
Manchester United mu kiseera kino etendekebwa omutendesi owe kiseera Ralf Ranginik.