Manchester United yagudde ku kyokya oluvanyuma lwa Club ya Liverpool okugikuba goolo 7 – 0 mu mpaka za Premier League, wabula guno sigwemulundi ogusoose ng’ekubwa goolo enkumu.
Mu October wa 2011 club ya Man City yalumba Manchester United ku kisaawe kyayo ekya Old Trafford negikuba ggoolo 6 – 1, era mu mupiira ogwo omusambi wa Manchester City Mario Baloteli yeyasooka okuteeba ggoolo mu ddakiika eya 22 era nayanjula engombo ye bweyali ajjaaganya eya WHY ALWAYS ME
Ate nga 24 October, 2021 Club ya Liverpool yalumba Manchester United negikuba ggoolo 5 – 0, era omupiira ogwo yeyali entandiikwa y’okugobwa kweyali omutendesi wa Manchester United ebiseera ebyo Ole Gunnar Solskjaer.
Ate nga 4 October 2020 club ya Tottenham yalumba club ya Manchester United negikuba ggoolo 6 – 1, wadde Man U yeyasooka okuteeba mu mupiira ogwo ng’eyita mu musambi Bruno Fernandez naye Spurs yakyuusa omupiira okukakana ng’eguwangudde
Ate mu August wa 2022 Club ya Brentford yakuba Manchester United ggoolo 4 – 0 mu gimu ku mipiira egyali giggulawo season eno. Omutendesi wa ManU omupya Ten Hag yabonereza abasambi be n’ekibonerezo eky’okudduka Kilometers 14 olw’okukubwa Brentford.
Mu October wa 1996 club ya Newcastle yakuba Manchester United ggoolo 5 – 0 bweyali ewoolera olwa ManU okugitwalako ekikopo,wabula Man yaddamu era nekitwala omwaka ogwo.
Ate mu October wa 1999 Club ya Chelsea yakuba Manchester United ggoolo 5 – 0 mu mupiira Chelsea gweyakyaza mu season ya 1999/2000.
Omutendesi wa ManU ow’ebiseera ebyo Sir ALex Ferguson yanyiiga nnyo natabukira abasambi be, wabula season yagenda okugwako nga ManU ewangudde ekikopo ng’esinga eyali mu kyokubiri owa Arsenal Points 18
Bikungaanyiziddwa: Mukasa Dodovico