Ebitongole by’okwerinda okuli Police ne CMI mu district ye Kiruhura, bakutte Manager wa Bank emu mu kitundu, ku bigambibwa nti yabadde mu lukwe lw’okutemula omusuubuzi w’amata.
Bank Manager akwatiddwa oluvannyuma lw’omusubuuzi we Rushere, Sam Ngumikiriza, okuwambibwa nattibwa, bweyabadde yakava mu Bank okuggyayo ensimbi obukadde bwa shs 27.
Abamu kubakwate abasagiddwa ku kitebe kya Police bayogedde engeri gyebaalusemu olukwe n’omu ku mukozi mu Bank eyababuulidde ku bikwata ku omusubuuzi w’amata n’ensimbi zeyabadde alina nga yakaziggya mu bank.
Omuduumizi wa Police mu district y’e Kiruhura DPC Sulait Kitaka, agambye nti Police yakwataganye n’ab’eby’okwerinda abalala nebalondoola abatemu bano.
Bisakiddwa: Kanwagi Baziwaane