Club ya Man City esitukidde mu liigi ya babinywera eya premier league e Bungereza 2022.
Omupiira gwesembezzaayo ekubye club ya Aston Villa goolo 3-2.
Man City empaka zino eziwangulidde ku bubonero 93, esinzizaako akabonero kamu kokka ku Liverpool ekutte ekifo eky’okubiri efunye obubonero 92.
Man City ewangudde ekikopo kino omulundi ogw’okubiri ogw’omudiringanwa, ate nga mulundi gwa 8 nga ewangula liigi eno.
Man City yasooka kuwangula liigi eno emirundi 2 nga tenafuuka premier league, mu sizoni ya 1936-37 ne 1967-68.
Okuva lwe yafuuka premier league bawangudde ekikopo kino omulundi ogw’omukaaga, basooka kukiwangula mu 2011-12, 2013-14, 2017-18, 2018-19, 2020-2021 ne 2021-22.
Mohammed Salah owa Liverpool ne Son Heung-min owa Tottenham basubaganye, bebasinze okuteeba ggoolo ennyingi zibadde 23 buli omu.
Man City, Liverpool, Chelsea ne Tottenham Hotspurs zezigenda kukiikirira Bungereza mu UEFA Champions league sizoni ejja.
Arsenal ne Manchester United bakukika mu mpaka za UEFA Europa League.
Norwich City, Watford ne Burnley zisaliddwako okuddayo mu liigi yawansi eya Championship.
Emipiira emirala gigaddewo premier League ya Bungereza sizoni eno; Liverpool ekubye Wolves goolo 3-1.
Crystal Palace ekubye Manchester United goolo 1-0.
Arsenal ekubye Everton goolo 5-1.
Chelsea ekubye Watford goolo 1-0.
Leicester City ekubye Southampton goolo 4-1.
Leeds United ekubye Brentford goolo 2-1. Newcastle United ekubye Burnley goolo 2-1.
Tottenham Hotspurs ekubye Norwich City goolo 5-0. Brighton ekubye Westham United goolo 3-1.
Bikungaanyiziddwa: Issah Kimbugwe