Ssabasajja Kabaka Empologoma ya Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II, alagidde abavubuka okwenyigira mukawefube ow’okutumbula n’okutaasa ennimi enzaaliranwa naddala Oluganda, zireme kusaanawo.
Nalinnya Lubuga Agnes Nabaloga yatuusizza obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka, ku Makerere University mu musomo ogw’okwefumiiitiriza ku nnimi enzaaliranwa ogwategekedwa essomero erisomesa ebyennimi mu ssetendekero wa Makerere.
Ku mukolo guno era kutegekereddwako omukolo gw’okuggulawo ekaddiyirizo (Museum) ly’ebyafaayo bya Sir Edward Muteesa II, era Nalinnya Nabaloga yaaliguddewo ku lwa s
Ssaabasajja.
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, asinzidde n’akaatiriza obukulu bw’ennimi enzaliranywa n’addala mukusomesa abaana.
Prof Barnabus Nawangwe, amyuka ssenkulu wa Makerere, agambye nti ekkadiyirizo lino, balizimbye okujjukirirako ebintu amakula Ssekabaka Muteesa byeyakolera eggwanga.
Mu museum eno muteekeddqamu ebifaananyi ebiraga obulamu bwa Muteesa Bweyalimu, bweyali omuyizi ku Makerere University edda ng’ekyayitibwa Makerere College
Yali mu kakiiko k’abayizi akaatekeratekeranga eby’emizannyo ku University, yali ku ttiimu y’abawuzi n’ebirala.
Owek. Prof. Saudah Namyalo, akulira essomero ly’ebyennimi mu ssetendekero Makerere, ategezeza nti kyenyamiza nti ennimi nnyinji ennansi zisaanawo buli lunaku, olwabantu okwesiba mu nnimi engwira nga balowooza nti abazoogera batwalibwa okubeera abaakabi.
Dr. Tonny Mukasa Lusambu, okuva mu kibiina kyolulimi oluganda, mukwogerako ne CBS agambye nti abantu basaanidde okukimanya nti olulimi ly’eggwanga.
Olulimi lwoleka obuvo n’obuddo bw’eggwanga, obuwangwa n’enkulaakulana esobola okutuukibwako.
Olunaku lw’ennimi ennansi olw’omwaka guno lutambulidde ku mulamwa ogugamba nti “Okusomesa abantu ennimi zaabwe ennansi, mpagi eyobuyigireza era ekwanaganya obugunjufu mu kutendeka emijiji”.
Olunaku lw’okwefumiitiriza ku nnimi ennansi lukuzibwa buli nga 21 February, lwatandikibwawo ekitongiole ky’ekibiina kyamawanga amagatte ekya United Nations Educational, Scientific, and Cultural Organization (UNESCO), mu mwaka gwa1999, nekigendererwa ekyokukuuma ennimi ennansi.
Bisakiddwa: Ddungu Davis