Obwakabaka bwa Buganda butenderezeddwa olw’ettoffaali eddene lyebwateeka ku by’Enjigiriza bya Uganda n’ensi yonna.
Bwabadde yeetabye mu musomo ogw’Okujjukira eyaliko Katikkiro wa Buganda omugenzi Martin Luther Nsibirwa nga yeyawaayo ettaka okutudde Makerere University, Amyuuka ssenkulu wa Makerere Prof Barnabas Nawangwe asinzidde ku mukolo guno nategeeza nti ssinga teyali Omugenzi Martin Luther Nsibirwa ekkula lino teryandibadde mu Uganda.
Omusomo gw’okujjukira Nsibirwa gubadde n’Omulamwa “Emigaso n’Obukulu bw’Obukulembeze Obw’ennono mu Uganda ya leero”.
Prof Nawangwe agambye nti Obwakabaka bwa Buganda nga bukulemberwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ne bakabaka abasooka, tebugenda kwerabirwa olwettoffaali eryassibwa ku byenjigiriza.
Omumyuka owookubiri owa Katikkiro wa Buganda era nga ye muwanika w`Obwakabaka Owek Robert Waggwa Nsibirwa nga yakiikiridde Obwakabaka, annyonnyodde ebintu ebyenjawulo ebikolebwa Obwakabaka era nga bigatta Uganda eyaawamu
Anokoddeyo okukungaanya omusaayi, okulwaanyisa Mukenenya, n’Okwaagaza abantu okukola okuva mu bwavu.
Owek.Nsibirwa agambye nti kikulu nnyo okunywezza ebyobuwangwa n’ennono mu kuzimba enkulakulana mu mulembe guno.
Agambye nti buli muntu asaanye okwewaayo, okuyimirira ku mazima n’okwolesebwa ku bintu ebyenjawulo nga kwotadde n’okukola ennyo okuleka omulululo ogulabwako.
Omuwabuzi ba Kabaka Owek Apollo Makubuya, nga yabadde omwogezi omukulu mu musomo guno, ayogedde ku mugenzi ng`Omusajja mukama gweyali yawa ebitone ebyenjawulo era byeyakozesa obulungi.
Makubuya agambye nti Obwakabaka bwa Buganda tebugenda kukoowa kubanja nfuga eya Federo, gyagamba nti yesobola okuleetawo enkulakulana eyanamaddala mubantu b’onna okuviira ddala kumuntu asokerwako.
Owek.Makubuya atongozza akatabo ke “Thrones and Thorns” . Akatabo kano kalambika emyaka 30 ebibaddewo bukyanga Obwakabaka buddizibwawo mu 1993.
Thrones and Thorns Kalambika emigaso gy’obukulembeze obw’ennono n’engeri gyebuyambe okukulaakulanya eggwanga.
Katikkiro Martin Luther Nsibirwa yazaalibwa mu mwaka gwa 1883 naafa mu mwaka gwa 1945.
Yawerereeza mu Mirembe gya ba Ssekabaka bana, okuli Ssekabaka Mutesa 1, Mwanga 11, Chwa 11 ne Ssekabaka Muteesa 11.
Omukolo guno gwetabiddwako omumyuka asooka owa Katikkiro Oweek Prof. Al Hajji Twaha Kawasi Kigongo, Katikkiro wa Buganda eyawummula Owek Mulwanyammuli Ssimogerere.
Abalangira n’abambejja nga Bakulembeddwamu Omulangira David Kintu Wasajja ne Rev. Dan Kajumba, ba minister b`Obwakabaka, ba Jjaja abataka Abakulu b`Obusolya, bannadiini, abayivu mu ggwanga , nabalala.
Bisakiddwa : Musisi John ne Naluyange Kellen