Amatikkira ga Makerere University agómulundi ogwe 72 gatandise , ng’abayizi abasoba mu 4000 bebatikkiddwa ku lunaku olusoose.
Abatikkiddwa leero bava ku bbanguliro ly’abasawo erya College of Health Sciences (CHS), abakuguse mu butonde bwensi College of Natural Sciences (CoNAS), nabakuguse mu mateeka okuva ku School of Law (SoL).
Mu matikkira gano abafunye degree eyokusatu basoba mu 100 ate abafunye first class bali 283, ng’omuwendo guno gukendeddeko okuva ku 312 abaafuna first class omwaka ogwayita.
Abayizi omugatte abatikkiddwa nabo bakendeddeko okuva ku bayizi 12,550 okudda ku bayizi 12,474, ngábakulu bagamba nti kivuddeku muggalo gwa Covid 19, era abawala basinzeeko n’ebitundu 52%, abalenzi 48%.
Amatikkira gano kukomekkerezebwa ku lw’okutaano luno nga 27 May.
President Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni emikolo gyámatikkira agyetabyeko mu nkola ya zoom, ngásinziira mu maka góbwapresident, wamu ne mukyala we era minister w’ebyenjigiriza Janet Kataaha Museveni.
President Yoweri Kaguta Museveni awanjagidde abakugu mu Makerere University okwongera obuyiiya okusobola okunogera eddagala ebizibu ebitawanya Uganda.
Museveni asuubizza nti government yakwongera amaanyi mukuyamba bannascience nti kubanga bebazimbirwako enkulakulana y’ensi.
Ssenkulu owa Makerere University Prof. Ezra Suruma ku mukolo guno kwasinzidde n’ategeeza nti kyabuvunanyizibwa okuzimba ebitongole ebigumidde,okusobola okutuusa enkulakulana eyanamaddala ku bantu bonna.
Vice Chancellor Prof Barnabus Nawangwe, asinzidde mu matikkira gano, nasaba government eteeke obuwumbi bwa shs 2 mu nteekateeka y’okusasula abakozi emisaala, naddala banna science abatandise okudduka mu University eno olwensasulwa embi.
Prof. Nawangwe mu ngeri yeemu, agambye nti ssetendekero akyasoomozebwa olw’ekibba ttaka lya University mu bitundu ebyenjawulo, nga baagala minister w’eby’enjigiriza okuyingira mu nteekateeka eno, nga bweyayingidde mu nsonga z’ettaka ly’e Katanga.
Bisakiddwa: Ddungu Davis