Minister w’ensonga zomunda mu ggwanga Maj. Gen Kahinda Otafiire atendereza ssabapolice w’eggwanga agenda okuwummula Martin Okoth Ochola, olw’emirimu gyakoledde police okuva lweyalondebwa mu kifo ekyo.
Martin Okoth Ochola asuubirwa okuwaayo Offiisi yobwa ssabapolice w’eggwanga oluvannyuma lw’ekisanja kye okugwako.
Minister Severino Kahinda agambye nti Martin Okoth Ochola abadde mwesimbu mu nkola ye ey’emirimu.
Martin Okoth Ochola yalondebwa kubwa ssenkulu bwa police yeggwanga mu March 2018, yadda mu bigere bya Gen Edward Kale Kayihura.
Wabula Okoth Ochola agenda kuwaayo ofiisi mu kiseera ng’omukulembeze w’eggwanga tanalonda agenda kumuddira mu bigere
Minister Otafire agambye nti omumyuka wa ssabapolice Maj Gen Tumusiime Katsigazi, y’agenda okukuuma offiisi eno, okutuusa okukulembeze w’eggwanga lwanalonda ssabapolice omuggya.#